0.0
0 review
15.09 MB
Everyone
Content rating
7.3K
Downloads
Baibuli y’Oluganda screenshot 1 Baibuli y’Oluganda screenshot 2 Baibuli y’Oluganda screenshot 3 Baibuli y’Oluganda screenshot 4 Baibuli y’Oluganda screenshot 5 Baibuli y’Oluganda screenshot 6 Baibuli y’Oluganda screenshot 7 Baibuli y’Oluganda screenshot 8 Baibuli y’Oluganda screenshot 9 Baibuli y’Oluganda screenshot 10 Baibuli y’Oluganda screenshot 11 Baibuli y’Oluganda screenshot 12 Baibuli y’Oluganda screenshot 13 Baibuli y’Oluganda screenshot 14 Baibuli y’Oluganda screenshot 15

About this product

Baibuli y’aboogezi b’Oluganda! Gifune ku ssimu yo ku bwereere! Luganda Bible.

Baibuli y’Oluganda description

Eno aapu ejja kukuyamba! Ekuwa Ekitabo Ekitukuvu mu Luganda, ku ssimu yo ku bwereere!

Tukuwa Baibuli enzivuunule obulungi mu lulimi OLuganda, emu ku nnimi enkulu mu Uganda. Aboogezi b’Oluganda abasukka mu bukadde 4 kati basobola okufuna Baibuli y’Oluganda.

Sembera eri Katonda ng’oyita mu kusoma Baibuli buli lunaku ku ssimu yo! Baibuli erimu ekigambo kya Katonda ekitaggwaawo. Kino kigambo kya Katonda eky’enjawulo era ekiwa amaaanyi.

Ekigambo kino kikulaga ekkubo ly’obulamu, kikuwa aw’okwewogoma ng’olina emitawaana, entanda Katonda gye yatuwa mu lugendo lw’obulamu buno.

Kati osobola okugifuna mu lulimi Oluganda, ku ssimu yo ku bwereere!

Ekitabo Ekitukuvu kirimu ebitabo 39 mu Ndagaano Enkadde (Olubereberye, Okuva, Ebyabaleevi, Okubala, Ekyamateeka, Yoswa, Ekyabalamuzi, Luusi, 1 Samwiri, 2 Samwiri, 1 Bassekabaka, 2 Bassekabaka, 1 Ebyomumirembe, 2 Ebyomumirembe, Ezera, Nekkemiya, Eseza, Yobu, Zabbuli, Engero, Omubuulizi, Oluyimba lwa Sulemaani, Isaaya, Yeremiya, Okukungubaga, Ezekyeri, Danyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Yona, Mikka, Nakumu, Kaabakuuku, Zeffaniya,Kaggayi, Zekkaliya, Malaki) n’ebitabo 27 mu Ndagaano Empya (Matayo, Makko, Lukka, Yokaana, Ebikolwa, Abaruumi, 1 Abakkolinso, 2 Abakkolinso, Abaggalatiya, Abaefeeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, 1 Abasessaloniika, 2 Abasessaloniika, 1 Timoseewo, 2 Timoseewo, Tito, Firemooni, Abaebbulaniya, Yakobo, 1 Peetero, 2 Peetero, 1 Yokaana, 2 Yokaana, 3 Yokaana, Yuda, Okubikkulirwa)

Soma Baibuli y’abaganda, mu lulimi oluyonjo era olw’omulembe. Funa Baibuli yaffe ey’Oluganda kati kati ku ssimu yo!
↓ Read more